Psalms 106

1 aMumutendereze Mukama!

Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.

2 bAni ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
3 cBalina omukisa abalina obwenkanya,
era abakola ebituufu bulijjo.

4 dOnzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
nange onnyambe bw’olibalokola,
5 endyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
era ntendererezenga mu bantu bo.

6 fTwonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
7 gBakadde baffe
tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
8 hNaye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
9 iYaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 jYabawonya abalabe baabwe;
n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 kAmazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
ne wataba n’omu awona.
12 lOlwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
ne bayimba nga bamutendereza.

13 mWaayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 nBwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 oBw’atyo n’abawa kye baasaba,
kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.

16 pNga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 qEttaka ne lyasama ne limira Dasani;
Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 rOmuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 sBwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 tEkitiibwa kya Katonda
ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 uNe beerabira Katonda eyabanunula,
eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 vebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 wN’agamba nti,
Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.

24 xBaanyooma eby’ensi ennungi,
kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25 yBeemulugunyiriza mu weema zaabwe,
ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26 zKyeyava yeerayirira
nti alibazikiririza mu ddungu,
27 aaera nga n’abaana baabwe
balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.

28 abBaatandika okusinza Baali e Peoli;
ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;
kawumpuli kyeyava abagwamu.
30 acNaye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,
kawumpuli n’agenda.
31 adEkyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu
emirembe gyonna.
32 aeBwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,
ne baleetera Musa emitawaana;
33 afkubanga baajeemera ebiragiro bye,
ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.

34 agAbantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 ahnaye beetabika n’abannaggwanga ago
ne bayiga empisa zaabwe.
36 aiBaasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
ne bibafuukira omutego.
37 ajBaawaayo batabani baabwe
ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 akNe bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 alBeeyonoona olw’ebyo bye baakola,
ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

40 am Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
n’akyawa ezzadde lye.
41 anN’abawaayo eri amawanga amalala,
abalabe ne babafuga.
42Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
ne babatuntuza nnyo ddala.
43 aoYabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
naye obujeemu ne bubalemeramu,
ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.

44 apNaye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
n’abakwatirwa ekisa;
45 aqku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 arN’abaleetera okusaasirwa
abo abaabawambanga.
47 asAyi Mukama Katonda,
otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
era tusanyukenga nga tukutendereza.

48 at Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”

Mumutendereze Mukama.
Copyright information for LugEEEE